Ssaabasajja Kabaka Asiimye n’asiibulula abantu be mu Masiro e Mende ku dduwa ya buli mwaka ey’okusabira Ssekabaka Nuhu Kalema.



Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo yeyanzizza Nnyinimu olw’enteekateeka ezigatta abantu be mu biseera ebyenjawulo.
Omukolo gwetabiddwako Bannaalinya, Abalangira n’Abambejja, Omulangira Dr. Kassim Nakibinge, Omumyuka wa Supreme Mufti Sheikh Ibrahim Ntanda n’abantu ba Beene abalala.
Ssekabaka Kalema yali Kabaka wa Buganda owa 33 era yali mwana wa Ssekabaka Muteesa I.