
Nga esigadde enaku ntono ddala okutuuka ku misinde
gy’amazaalibwa ga Beene, kampuni ya Ddungu Resort
Beach ng’enkulembedwamu manager waayo William
Ssembogga yegasse ku balala okugula emijoozi
gy’emisinde gya Kabaka okutuukiriza ekiragiro kya Kabaka
eky’okulwanyisa mukenenya.