SSAABASAJJA KABAKA ASIIMYE BANNADDIINI OLW’OKWENYIGIRA MU NTEEKATEEKA Y’OKUGABA OMUSAAYI MU BUGANDA

Obubaka buno Omutanda yabutisse Omulangira Crispin Jjunju Kiweewa, abadde omugenyi omukulu, ku mukolo ogw’okutongoza kaweefube w’okugaba omusaayi mu Kyaddondo, ogwabadde mu bimuli bya Bulange .

Kabaka abasiimye nnyo olw’okuba eky’okulabirako eri abantu, mu kaweefube ono ow’okumalawo ebbula ly’omusaayi mu malwaliro.

Mu ngeri yeemu, Kabaka era asiimye abaami be olw’okukunga obulungi abantu ne bategeera omugaso gw’okugaba omusaayi era nebakwenyigiramu.

Yakikkaatirizza nti obwetaavu bw’omusaayi bukyaliwo nnyo mu naddala ng’abantu bakyagwa ku bubenje, obuviirako bangi okugwetaaga.

Okugaba omusaayi mu Kyaddondo kutandika nga 13 January, kukomekkerezebwe nga 20 January, 2023.

Omugenyi omukulu yabade OMulangira Cryspin Jjunju Kiweewa.

Omumyuka asooka owa katikiro yakunze abantu bonna okugaba omusaayi .

Ye Oweek. Haji Amis Kakomo, ku lwa Minisita Avunaanyizibwa ku byobulamu, Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma, alubirizza abantu okwettanira okulya ebibala kuba bye bisinga okukola omusaayi mu mibiri.

Dr. Halid Kirunda, ssentebe wa Bboodi eya Uganda Red Cross Society mu Uganda, agambye nti baagala nnyo okubusaasaanya enteekateeka eno mu bitundu by’eggwanga byonna, kuba evuddemu ebibala.

Ayongeddeko nti abantu beeyongedde okutegeera obwetaavu bw’okugaba omusaayi ssaako n’okugugaba okuguwaayo nga obungi bwagwo bweyongerako “unit” 312,000 omwaka we gugwereddeko, era beyaanzizza nnyo Beene olwa kaweefube ono.

Leave a comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.