
Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye ne yeetaba mu Nkuuka ya CBS, mu Lubiri lwe, olw’e Mmengo, naggalawo omwaka omukadde, ate n’okuggulawo omuggya 2023. Mu ngeri yeemu, Kabaka era asiimye n’atikkira Julius Buwemba, engule ey’Omuzira mu Bazira owa 2022.






Kabaka, abadde ne Nnaabagereka, Sylvia Nagginda n’Omulangira Richard Ssemakookiro, baaniriziddwa Katikkiro, Oweek. Charles Peter Mayiga, ne batuula mu weema ne basanyusibwamu.

Omukolo gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo okuva e Mengo ne mu Gavumenti eyawakati, ate n’Obuganda obwetabye mu Nkuuka