
Bano bedddiza engabo eno gye baawangula n’omwaka oguwedde, bakubye Ndiga mu bunnya ggoolo 7-6.



Ngabi Nsamba bakubye Ndiga mu bunnya ggoolo 7-6 oluvannyuma lw’okulemagana 2-2 mu ddakiika 90




Katikkiro Charles Peter Mayiga akulisizza bakojjaabe bano olw’okuwangula Engabo era yebazizza Ebika byonna ebyetabye mu mizannyo gy’Ebika omwaka guno, ng’akikaatiriza nti Ebika bikulu nnyo mu Buganda kubanga binyweza obumu, ate nga limu ku masiga asatu Buganda kwetudde.
Katikkiro era yebazizza abategesi, abazannyi, abatendesi, abategesi n’abavujjirizi b’emizannyo gy’omwaka guno, era n’atendereza omutindo omulungi ogwoleseddwa.