
Minisita Wamala ategeezeza nti newankubadde enteekateeka zitutte ebbanga, naye waliwo ekikolebwa. Yebazizza Omusumba Kayanja naye eyavuddeyo okutambula n’Obwakabaka mu nsonga eno.
Omusumba Robert Kayanja yebazizza nnyo Obwakabaka olw’enteekateeka gye bulina mu kuzzaawo ennyanja ya Kabaka. Ategeezezza nti okusinziira ku Pulaani gy’alabyeko mu lukiiko lwe yetabyemu, emwongedde amaanyi nti omulimu guno gujja kuweesa Obwakabaka ne Uganda yonna ekitiibwa era yeyamye okutambulira awamu n’Olukiiko olukola ku nsonga eno okulaba nti ekigendererwa ekikulu kituukibwako.
“Ennyanja eno y’egenda okutaasa Kampala, kubanga twalabye ekizimbe nga kikutte omuliro, naye amazzi gava wala mu nnyanja Nnalubaale, ennyanja ya Kabaka y’erina amazzi okututaasa singa omuliro gukwata mu kibuga kyaffe” Omusumba Kayanja.
Ssentebe w’Olukiiko Omuk. John Fred Kiyimba Freeman ategeezezza nti olukiiko lwafulumya dda pulaani eyayisibwa Kabineeti ya Kabaka be Beene kennyini, agamba nti ekifo ennyanja kwetudde kiri ku yiika 67, kyokka kuliko abeesenzaako wabula bano baalabulwa dda, era abajjukiza okusegulira ettaka lino kubanga enteekateeka z’okuddaabiriza ekifo kino zigenda kutukizibwa mu bwangu ddala.
Ono ategeezezza nti olukiiko lusazeewo ebintu 4; okutambulira ku Pulaani eriwo, okukwatagana ne KCCA ne Minisitule y’Ebyettaka okulaba nti oluguudo olulinanye ennyanja lukolebwa, okutambula n’enteekateeka Omusumba Kayanja ze yatandiseeko omuli ekinya ekyasimiddwa okusengejja amazzi n’ebitoogo ebikwata obukyafu n’ensonga esembayo okulaba nti ettaka erya puntibwa liteekebwako bbuggwe lyonna.