
Emmisa ekulembeddwamu Ssaabasumba Paul Ssemogerere ng’ayambibwako Omubaka wa Ppaapa Ssaabasumba Dr. Augustine Kasujja, Abeepisikoopi okuli Rt. Rev Serverus Jjumba, Rt. Rev. Lawrence Mukasa Lutwama n’asabaaserdooti abalala bangi.
Mu kitambiro era mubaddemu bannaddiini okuva mu Kkanisa ya Ugnda, Eklesia y’Abasoddookisi n’Abayisiraamu.
Bannabyabufuzi ab’emitendera gyonna Emmisa eno bagyetabyemu.
































