By Omutaka Ssekiyijja Mukwaya Muyise e Bubeke Ssese

Ennono y’Ekifundikwa .
- Ekifundikwa ky’ekyambalo ekikolebwa mu lubugo ekyambazibwa omuntu nga asikira munne eyafa.
- Omusajja yekka yayambazibwa ekifundikwa okujjako Abambejja, bbo bambazibwa ekifundikwa nga Abasajja.
- Omusajja asikirwa musajja era n’Omukazi asikirwa Mukazi, omuntu asikirwa wa lubu lwe.
- Omuntu asikirwa wa Kika kye okujjako Omwami asobola okusikira omupakasiwe, omupakasi nga talina mwana!
- Omusajja asikirwa:
a) Omwana we ow’Entumbwe
b) Omuzzukulu we, omwana w’omwana we
c) Mutoowe
d) Omwana we owa muganda we
e) Omuzzukulu, omwana w’omwana wa muganda we, oba
f) omuntu yenna okuva mu Lunyiriri omuntu oyo mwava.
Obulombolombo obutambula n’Ekifundikwa.
- Ekifundikwa kibeera kya oyo gw’osikidde, gwe oyambala kyambale! Mukazi wo takwata ku kifundikwa kya Kitaawo kubanga era teyandiyinzizza ku kwata ku ngoye ze.
- Omuntu akoze ekivve tateerwako musika, olumbe lw’oyo lwabizibwa mu bibamba. Okugeza omuntu eyeggye yekka mu bulamu nga agenderedde yette.
Okukyusa Ekifundikwa .
Ekifundikwa kikyuka singa wabeerawo ensonga nga zino:
- Omusika okwejeguula. Wano aba akoze ebitasaana nga okwezza ow’Ekika kye oba okwebagala Ensolo.
- Omusika okutabuka omutwe abaliwo ne balaba nga takyaddamu kutereera
- Omusika okuzaala Abalongo. Ssalongo tasika okujjako nga asikira Ssalongo. Obwa Ssalongo bwe busanga gwe yasikira teyali Ssalongo, Ekifundikwa kimujjibwako, ekiyitibwa okumenya olukanda.
- Omusika ayinza okukoowa obuvunanyizibwa, n’asaba Ekifundikwa kimujjibweko.
- Singa omusika afa nga be yasikira bakyaliwo, bano bayinza okusaba Ekifundikwa kya Kitaabwe ne kukwasibwa omuntu omulala atali musika agenda okusikira eyali abasikidde mu kusooka.
- Gye bujja, abasika abatunda Ebiggya, kisoboka okubaweewenyula embooko n’okubaggyako Ekifundikwa.
- Amakulu agali mu kwabya ennyimbe
.
● Kiva mu mpisa, Obulombolombo n’ennono Omuganda okweyabyako olumbe.
OMUGANDA ALINA ENSONGA KW’ASINZIIRA OKWABYA ENNYIMBE.
● Gubeera omukolo ogw’okuwerekera n’okusiibula okw’enkomerero oyo gw’aba ayabiza olumbe.
● Gubeera omukolo ogw’okufulumizaako obubaka obuli mu buwandiike obuyitibwa EKIRAAMO omugenzi bweyaleka.
● Gubeera omukolo ogw’okussaako omusika ng’adda mu bigere by’oyo omugenzi n’okumukwasa obuvunaanyizibwa bwonna omugenzi bwe yalinanga.
● Omukolo ogukuηηaanya Ab’oluganda, Abako nab’emikwano.
● Mukolo gwa kongera okumanyagana mu buliwo , ekireeta okwagalana ng’oboluganda.
● Bwe wabaawo obukuubagano oba enjawulo mu Beekika, abakulu abakwatibwako ensonga bazitunulamu ne bazigonjoola.
● Kireeta onkolagana eri abantu
Weetegereze: Omusamize ayambala Kittutwa wabula omusika asumikirwa kifundikwa.
Nze Omutaka Ssekiyijja Mukwaya Muyise e Bubeke Ssese