AMATIKKIRA 30

OKUJAGUZA EMYAKA 30 NGA KABAKA ATUDDE KU NNAMULONDO YA BAJJAJAABE.

Emikolo emikulu gibadde mu Lubiri e Mengo olwa leero, Ssaabasajja ne yeebazizza Katonda olw’okumukuuma n’atuuka ku myaka 30 ng’alamula Obuganda.

Asiimye abantu bonna abakoleredde Obuganda mu biseera eby’enjawulo naddala abo abalwana obwezizingirire okukuuma Obuganda mu biseera nga Obwakabaka buwereddwa, omuli Abalangira, Abambejja; Abataka; Bannaddiini, n’abantu bonna abalala abalina kye baakola.

Omuteregga alagidde abavubuka obutava mu byalo nga beeyuna ekibuga era beewale okwetundako ettaka lyabwe, bayige obugumiikiriza.

Ssaabasajja annyonnyodde abantu obukulu bwa Federo n’ategeeza nti mu nkola e’ya Federo, buli kitundu kijja kusobola okukulaakulana olwo ne Uganda ng’eggwanga nayo esobole okukulaakulanira awamu.

Alabudde abantu okwewala okubongoota, kuba newankubadde Obwakabaka tubwagala nnyo, waliwo abatabwagala.

Congratulations to His Majesty Kabaka Ronald Muwenda mutebi II and the people of Buganda on the 30th Royal Coronation of the Kabaka.

OLULYO OLULANGIRA

Ssabasajja Kabaka wangaala

#Amatikkira30

Leave a comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.