Nnaabagereka, yalambudde abasaakaate, ku Muzza High School, e Kabembe, mu Kyaggwe.
Yayaniriziddwa abagunjuzi mu Kisaakaate, oluvannyuma ne bamulambuza ebintu eby’enjawulo ebiyigirizibwa abasaakaate.
Mw’ebyo bya bamulaze mwabaddemu; okuyigiriza abaana okukola ssabbuuni ow’amazzi; okukamula eby’okunywa; okuteekateeka emmere; okuluka ebitambaala; okulima, n’okulunda.
Abasaakaate era babangulibwa ku by’obuwangwa; ebyobulamu; enneeyisa mu bantu; obuyonjo, awamu n’okuzannya emizannyo egy’enjawulo.




