



Olubiri lw’eNkoni lwe lumu ku mbiri za Ssaabasajja Kabaka wa Buganda era nga lulina ebijjukizo bingi nnyo.
Olubiri luno lwaweebwa Ssekabaka Muteesa II (taata wa Kabaka Mutebi ) abantu be abalimi okuva e Buddu mu 1955 bwe yali ava mu buwanganguse.
Olubiri lw’eNkoni lusangibwa ku kyalo Nkoni ku muluka gwe Kingo mu disitulikiti ye Lwengo, lutudde ku ttaka lya yiika kkumi bwe ddu.
Abantu ssekinomu kkumi ate nga balimi ba mmwanyi okuva mu Buddu, be baakulemberamu okuzimba olubiri luno, abamu ku bbo be bano; Zelibaberi Mutasaga, Yokana Mukasa, Hajj Musa Magezi, Hajj Mukasa, Mwami Walubiri, Aaron Tebajjanga, Tefiro Ssembuzi ne Kagogo.
Ssekabaka Muteesa II bweyava mu buwanganguse, olubiri luno lwamuweebwa nga ekirabo ekimuyozaayoza okuva mu buwangangusse.
Nga 22 omwezi ogw’okusatu 2003, abantu ba Ssaabasajja 33 nga bakulembeddwamu eyaliko Ssentebe wa Masaka, Mwami Joseph Kasozi balondebwa okulabilira olubiri luno, omulimu gwebakoze obulungi.
Olubiri lw’eNkoni luzze luddabirizibwa ebiseera ebiyise okutuuka ku mutindo gw’embiri zonna. Kinajjukirwa nti nga Obwakabaka bujjaguza amatikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogw’abiri mw’omunaana, emikolo gino gyakolebwa kublubiri luno olw’eNkoni. Ku mulundi ogwo gw’ennyini Olubiri lw’eNkoni kye ekitabo ekyaweebwa Ssaabasajja ku matikkira gano.
Tulambule nnyaffe Buganda.
@Obwakabaka bwa Buganda