





Obwakabaka bukungubagidde Nnaabakyala wa Bungereza Elizabeth II eyavudde mu bulamu bwensi.
Mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku Bulange, Katikkiro agambye nti Nnaabakyala Elizabeth II yategeera nnyo obuvunaanyizibwa obugendera mu kifo kyabaddemu era afubye nnyo okubutuukiriza.