EMPAKA ZA NALULUNGI W’EBYOBULAMBUZI MU BUGANDA

http://www.olulyoolulangiraonline.com
http://www.olulyoolulangiraonline.com
http://www.olulyoolulangiraonline.com
http://www.olulyoolulangiraonline.com
http://www.olulyoolulangiraonline.com

5/SEPTEMBER/2022

OWEEK KYEWALABYE MALE ASISINKANYE ABAWANGUZI B’OBWANNALULUNGI W’EBYOBULAMBUZI MU BUGANDA.

http://olulyoolulangiraonline.com

Minisita w’Obuwangwa; Ennono; Obulambuzi, n’Embiri, Oweek. David Kyewalabye Male, asisinkanye abaawangudde obwannalulungi bw’ebyobulambuzi mu Buganda okubadde: Sydney Nabulya Kavuma, eyakwata ekisooka; Roseline Nakato Namayanja, eyakwata ekyokubiri, ate ne Allen Genevieve Namakula, eyakwata ekyokusatu.

Ensisinkano ebaade ku Bulange n’abakuutira okweyambisa obulungi omukisa gwe bafunye batumbule era basitule ebitone byabwe okutuuka ku ddaala lye beegomba.

http://www.olulyoolulangiraonline.com

Akikkaatirizza nti Obwakabaka bwa Buganda bussa nnyo essira ku kutumbula ebitone by’abaana abawala n’ekigendererwa eky’okusitula embeera z’ebyobulamu bwabwe.

Abasabye okukuuma bendera y’Obwakabaka mu kitiibwa nga babeera eky’okulabirako ekirungi eri enkumu abanaabalabirako n’okubeegomba.

Abasabye okweteekateeka obulungi basobole okuvuganya n’amaanyi ku mutendera ogw’eggwanga gwe bagendako, bakiikirire bulungi Obwakabaka, baveeyo nga bawanguzi.

http://www.olulyoolulangiraonline.com

Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board, Muky. Victoria Kayaga, agambye nti ba Nnalulungi bano bagende mu kkampu okutandika n’olunaku lw’enkya, era nga bazze okufuna okulambikibwa okuva embuga, bafune obuvumu obunaabawanguza.

Leave a comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.