Category Archives: Uncategorized

OBUGANDA OKUVA E BULE N’E BWEYA BUJJUZZA OLUSOZI LUBAGA OKWETABA MU KITAMBIRO KYA MMISA ENTUKUVU ERA EY’EKITIIBWA NGA BEEBAZA KATONDA OLW’OBULAMU BWA SSAABASAJJA KU MAZAALIBWA GE AG’EMYAKA 70.

Emmisa ekulembeddwamu Ssaabasumba Paul Ssemogerere ng’ayambibwako Omubaka wa Ppaapa Ssaabasumba Dr. Augustine Kasujja, Abeepisikoopi okuli Rt. Rev Serverus Jjumba, Rt. Rev. Lawrence Mukasa Lutwama n’asabaaserdooti abalala bangi.
Mu kitambiro era mubaddemu bannaddiini okuva mu Kkanisa ya Ugnda, Eklesia y’Abasoddookisi n’Abayisiraamu.
Bannabyabufuzi ab’emitendera gyonna Emmisa eno bagyetabyemu.