KWENJEERA NYO,OMUGENZI PAUL MAWANDA KYABAGGU

EBYAFAYO KU MULANGIRA KYABAGGU PAUL

Ono ye mulangira Paul kyabaggu director wa st. Joseph of Nazareth kavule katende mpigi era nga ye director wa bukoola chemical industries.
Asibuka kannabulemu, kyebe sc, kakuuto kyotera mu Buddu

Ono ye mulangira Paul kyabaggu director wa st. Joseph of Nazareth kavule katende mpigi era nga ye director wa bukoola chemical industries.
Asibuka kannabulemu, kyebe sc, kakuuto kyotera mu Buddu

Ono ava mu balangira be ssanje abakulemberwa omulangira kalema ssajjalyambuga mu Buddu


Abadde musajja munnabyanjigiriza nnyo era nga ajunye abayizi bangi okuva mu kitundu kye kannabulemu nga kumpi emyaka 20 egiyise abadde yateekawo enkola Nga abaana abasomera primary ku st. Simon Nazareth ps nebayita wakati w’obubonero 4ne 10 nga basomera bwereere ku st Joseph of Nazareth, era abayizi abakola 1st grade mu o level ya holy family Nazareth ss nga abawa omukisa okusoma A level ku ssomero lye ku bwereere.

Nga ojjeeko okuba munnabyabulimi olwa kampuni ya bukoola chemical industries gyeyatandikawo, ku luuyi lweddiini era abadde mpagi nnene nnyo naddala mu eklezia gyagwa. Kino kirabikira ku maanyi gabadde ateeka mukuzimba amasinzizo naddala e kannabulemu gyazaalwa era nga abadde akikola nga tayambiddwaako.

Yazimba ekijjukizo Kyomujulizi yowaana maria muzeeyi e minziiro era nga eyo abakatoliki balamagayo buli gatonnya.

Yazimba ekerezia yekigo kye Nazareth yonna okuva Ku musingi paka nga ewedde, ekisomesa Kya Christ the king lugonza mu kigo kyekimu, ekisomesa kyekirunda era mukigo kyekimu, nokuwanga abaana basale mu misomo gyebyemikono era nga buli mwaka abadde akikola Kati emyaka 10 nga buli mwaka awaayo abaana 20 omukisa ogwo.

Nga 19/ jan / 2019 Beene yasiima nalambula essomero lye erya St Joseph of Nazareth era naggalawo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka .
Kwenjeera nnyo ayi Beene

Ssaabasajja Kabaka yasiimye emirimu n’omukululo ogukoleddwa Omulangira Dr. Paul Mawanda Kyabaggu omutandisi wa Bukoola Chemicals Industries Ltd.

Obubaka bwa Ssaabasajja bwasomeddwa Katikkiro mu Ekelezia ya St. Nazareth Kannabulemu ewabadde okusabira omugenzi. Ono agalamiziddwa e Kannabulemu Kyotera mu Buddu.

Leave a comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.