
Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza omutindo ogwoleseddwa ttiimu zombi era ne yebaza abawagizi abazze mu bungi n’abategesi n’omupiira olw’enteekateeka ennungi.

Katikkiro asabye omwaka guno wabeewo okusoosowaza omupiira okuwangula okusinga ebiruubirirwa by’abantu obuntu, akubirizza empisa ku kisaawe n’ebweru waakyo.

Emizannyo mu mpaka z’Amasaza giddamu ku Lwomukaaga ne Ssande ya ssabbiiti ejja n’emipiira 8 mu bibinja byonna bisatu (3).