SSAABASAJJA KABAKA YASITUDDE OKUGENDA EBWERU W’EGGWANGA, OKUSISINKANA ABASAWO BE OKWONGERA OKUMUKWEKEBEJJA OKULABA ENGERI GY’ABADDE AJJANJABIBWA ABASAWO BE ABAAKUNO.

kabaka Mutebi Nga agenda ebweru w’egwanga

 

Ssaabasajja Kabaka asitudde okugenda ebweru w’Eggwanga, okusisinkana abasawo be okwongera okumukwekebejja okulaba engeri gy’abadde ajjanjabibwa abasawo be abaakuno.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezeza nti Nnyinimu agenze atereera nga ye kennyini Omuteregga bw’azze ategeeza Obuganda mu bubaka bwe obw’enjawulo.

Katikkiro asabye abantu ba Kabaka okumanya nti Obwakabaka busoosoowaza nnyo obulamu bwa Maasomoogi kubanga kye Katikkiro ky’Obwakabaka.

Kamalabyonna wa Buganda era awerekedde Omutanda ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe n’Abakungu abalala.

Leave a comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.