“Omwaka 2025, tweteekerateekera okulonda abakulembeze baffe ku mitendera egy’enjawulo. Tubasaba okwenyigira mu nteekateeka zino, kyokka nga temwerabidde nti, twagala abakulembeze abalina omwoyo gw’eggwanga era abanaatambuza Obwakabaka bwaffe ne Uganda eyawamu”
#ObubakaBwaKabaka

“Abavubuka tubakubiriza obutassa kintu kyonna mu nkola nga temwetegereza oba okwebuuza ku bantu abakulu.”
#ObubakaBwaKabaka
“Enteeseganya ezibeera mu Parliament of Uganda yaffe zireme kuggweera mu bigwo. Kino kitwennyamiza nnyo okulaba nga gye tusuubira obwenkanya n’ebirowoozo ebizimba Eggwanga, waliyo ntalo! Empisa eno etuuse ne mu nkiiko endala eza gavumenti ez’ebitundu etweralikiriza nga twebuuza, nti ebiteesebwa bituyamba oba biyamba wa maanyi yekka?
Enteeseganya ezifaanana bwezityo, ziraga nti waliwo okunyigirizibwa era okwetaaga okugonjoola awatali kusosola wadde okunyigiriza ekitundu omubaka aleese ekiteeso gy’asibuka.”

“Essaala zammwe, Mukama azaanukula era kati tuzze buggya mu bulamu ne mu ntegeka zaffe zonnna. Temuggwamu maanyi. Ensi yetaaga abavumu abalengera amangu ebitujja ku mulamwa”

ANNOUNCEMENT
PLAN YOUR DREAM WEDDING WITH US AT DUUNGU RESORT BEACH
Make your wedding day truly special at
Ddungu Resort Beach. With its stunning
location, exceptional services, and luxurious
accommodations, it’s no wonder this resort
is considered the best wedding venue in
Uganda. Contact us today to start planning
your dream wedding and create memories
that will last a lifetime.
For more information and bookings, visit ou
or call us at +256761133160
We look forward to welcoming you to
Ddungu Resort Beach, where your dream
wedding becomes a reality!













