
Nnaabagereka Sylvia Nagginda bw’abadde akwasa Owek. Katende engule eno, amutenderezza olw’okubeera n’okwolesebwa okw’amaanyi ate n’obumalirivu okulaba nti ayimirizaawo kye yatandika okutuuka kati ku myaka 47, mu ngeri y’emu ne yebaza mukyala we Margaret Katende gw’agambye nti mpagi nnene nnyo ewaniridde obuwanguzi bwa Owek. Katende.

Nnaabagereka atenderezza obuweereza bwa Ebonies bw’agambye nti butumbudde obuwangwa obw’enjawulo mu Uganda nga n’okusingira ddala obwa Buganda, abeebazizza olw’okusomesa okuyigiriza n’okutuusanga obubaka obw’enjawulo nga bayita mu mizannyo emingi gye bakoze mu myaka 47.

Maama wa Buganda yeebaziza abantu ab’enjawulo ababaddewo mu lugendo lwa Ebonies n’abo abeetabye mu kulaba omuzannyo gwe bategese ku Serena Hotel gw’agambye nti gubadde omukisa okugatta abantu abaaliwo edda ate n’emigigi emito ate okuyigira ku bannakatemba bano abalina obumanyirivu.
Nnaabagereka era asinzidde wano n’asaba Gavumenti, ebitongole n’abantu kinnoomu okuwagira ekisaawe ky’ebyakatemba n’ebitone okusobola okutumbula Obuwangwa n’okuzimba amawanga n’Ensi okutwaliza awamu.
#EboniesAt47