EBIBADDEWO OMWEZI GWA JUNE

SSAABASAJJA KABAKA ASIIMYE N’AGGULAWO OLUKUNGAANA LWA BUGANDA BUMU NORTH AMERICAN CONVENTION 2023.

Olukungaana luno lutudde ku Hyatt Regency Hotel, e Seattle, mu Amerika, okutema empenda ez’okwanganga ebbula ly’amazzi amayonjo mu Buganda.

Katikkiro, Oweek. Charles Peter Mayiga, yeeyetisse obubaka bwa Kabaka, n’akuutira abantu okunyweza enteekateeka eno, mu kaweefube w’okunyweza obumu; okuyamba abantu b’ebweru okumanya ebigenda mu maaso mu Buganda, ate n’okutambulira awamu ne Gavumenti ya Kabaka.

Ssaabasajja asiimye Omulamwa ogwalondeddwa ogw’okugonjoola ekizibu ky’ebbula ly’amazzi amayonjo mu Buganda, ky’agambye nti kiviiriddeko endwadde nnyingi, ssaako n’ebizibu eby’enjawulo mu bantu be.

Ssaabasajja asabye abantu be okwewala abalyolyomi abagezaako okukkakkanya Buganda, mu ngeri ez’enjawulo, n’abakuutira okutabagana n’okuggumiza enteekateeka z’obukulembeze bwa gavumenti ye, ey’eMengo.

Omukolo gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wasajja, Baminisita, Omukulembeze w’Oludda oluvuganya mu Palamenti, Bajjajja Abataka Abakulu b’Obusolya, Supreme Mufti, Sheikh Muhammad Shaban Galabuzi, ababaka ba Palamenti n’abantu abalala bangi nnyo okuva ku ssemazinga w’Amerika.


AMASAZA CUP 2023 LAUNCH

Leave a comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.