Omulangira Dr. Kassimu Nakibinge, yakyaddeko ku Muteesa I Royal University, e Kirumba, Masaka, n’aggulawo omuzigiti gwa Ssetendekero oyo mu butongole.

Omulangira Dr. Kassimu Nakibinge, yakyaddeko ku Muteesa I Royal University, e Kirumba, Masaka, n’aggulawo omuzigiti gwa Ssetendekero oyo mu butongole.

Omuzigiti guno gwazimbwa Hajati Bitaminsi Namuddu, n’aguwaayo eri Ssettendekero ng’ekirabo, nga yeebaza Katonda olwa Ssaabasajja Kabaka, okubeera ku Nnamulondo.

Omulangira yasiimye nnyo ab’enju ya Hajat Bitaminsi olw’okuzimba omuzikiti guno. Yeebazizza nnyo amyuka Chansala n’abaweereza ku Ssettendekero, olw’omulimu gwe bakola okugunjula abaana b’eggwanga.

Yawerekeddwako Supreme Mufti, Sheikh Galabuzi; Minisita, Haruna Kasolo; 43⁰Mmeeya w’e Masaka, Florence Namayanja n’abantu abalala bangi.

Leave a comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.