SSAABASAJJA YASIIMYE EMIRIMU GYABAWEEREZA AB’OBWAKABAKA

Ssaabasajja yasiimye nnyo abakozi olw’obuweereza obulungi bwe boolesezza mu mwaka guno, obuvuddemu ebibala nkumu ebirabwaako.Omwaka gubaddemu ebisoomooza, n’ebyenfuna bibaddemu obunafu obw’amaanyi.

Bino byabadde mu bubaka bwatisse Omumbejja Dorothy Nassolo ku mukolo gwennyimba z’amazaalibwa ku bulange e Mengo.

Kyokka kirungi nti temuterebuse.Ssaabasajja abakubirizza okuba abannyiikivu mu mirimu gye bakola ate n’okukola n’okwagala.

Yasiimye obumu obw’eyongedde mu bantu be, ate n’emirimu egyeyongedde mu Bwakabaka, ekyo nno kiraga nti waliwo okugenda mu maaso.

Ensonga y’ebyobulamu ekwatiddwa bulungi mu Bwakabaka era yeebazizza abakozi okuba nga nabo kati basaale mu kulwanyisa endwadde naddala mukennenya, ate n’okwenyigira mu kugaba omusaayi.

Yebazizza ebitongole by’Obwakabaka byonna olw’okwenyigira butereevu mu nteekaateeka z’Obwakabaka.Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti twayise abagenyi batono batono anti tukyali mu kwekengera obulwadde bw’Ebola so nga batugamba anti ne Lumiima-mawuggwe akyaliyo.

Nneebaza Bishop Eria Paul Luzinda atuyigirizza.2. Emirimu egikoleddwaOkuva gavumenti bwe yaggyawo omuggalo ku ntandikwa y’omwaka 2022, twaddamu okukola kinawadda era emirimu gibadde mingi nnyo. Tufubye okussa mu nkola bye tweyama okukola omwaka guno.

Kyokka okusoomoozebwa kubadde kungi. Tutuuse ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka mu Masaza ag’enjawulo mu Buganda, n’ebweru waayo, mu kwagala okulaba nti ffenna tutambulira wamu; mu kaweefube w’okulwanyisa obwavu; mu kutumbula ebyobulamu; ate n’okutuusa ku bantu ba Kabaka obubaka obw’enjawulo.

Ebitongole byaffe nabyo bifubye okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabyo, weewawo nga obwetaavu obw’okwongera okunyiriza emirimu nabwo bukyaliwo. Kyokka embeera y’ebyenfuna yakosebwa nnyo obulwadde bwa Lumiima- mawuggwe era nga kino mu ngeri yeemu kyatataaganya emirimu mu bitongole eby’enjawulo.3.

Obujjumbize bw’abantu ba BugandaNeebaza nnyo abantu ba Buganda abajjumbidde enteekateeka z’Obwakabaka n’okuwagira emirimu gyaffe.

Mu Buganda abantu beeyongedde okukola ennyo; balimye emmwanyi n’ensuku era bangi bettanidde okulunda; baanukudde eddoboozi lya Kabaka mu kulwanyisa mukenenya; bagabye omusaayi; baweeredde abaana; era obwo bwe bubonero obulaga nti abantu bangi eby’okwekubagiza bagenze babivaako.

Enteekateeka y’Oluwalo ejjumbiddwa nnyo mu 2022 okusinga mu myaka emirala gyonna bukya tutandika enkola eno, kubanga ensimbi ezatuweereddwa zaasusse mu kawumbi era n’abantu abajja okuva mu maggombolola ga Buganda beyongedde obungi. Entambula y’Oluwalo nga bw’ebadde Omuwanika ne Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu baggya kwongera okuginnyonnyola Obuganda mu maasoko awo, naye nga ensimbi zetufunye zituyambye nnyo mu kukola emirimu gya Kabaka, nga bwe nnannyonnyodde mu kuggalowo Oluwalo Lwaffe 2022.

Enteekateeka z’Obwakabaka endala nga emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka; Omupiira gw’Amasaza n’endala zonna zijjumbiddwa nnyo. Buno bwe bubonero obulaga nti tutambula tudda ku ntikko.

Obuganda mbwebaza era ne bannamikago be tutambudde nabo tubeebaza nnyo olw’okutwesiga.Abawangudde.Njozaayoza abaweereza abawangudde era abassukkulumye ku bannaabwe mu nkola y’emirimu mu bitongole eby’enjawulo.

Okuvuganya kulungi kubanga kuyamba okusitula omutindo mu buweereza. Okuvuganya kw’Ebitongole.Omwaka oguwedde twatandika enkola ey’okuvuganya kw’ebitongole era kwesigamiziddwa ku bino;

a. Okutambulira mu nnambika eweebwa ekitongole wamu n’okuyitimusa ekifaananyi ky’ekitongole.

b. Okutuukiriza amateeeka n’ebisanyizo eby’etaagisa mu nzirukanya y’ebitongole

c. Entambuza y’emirimu mu kitongole,Ebyensimbi mu kitongole.

Era bwe tumaze okuyita mu lupimo ebitongole biddiringanye bwe biti;

a. Buganda Royal Institute (87.4%)

b. CBS (82.9%)

c. Lubiri Nabagereka Primary School (80.8)Ebitongole bino Kabaka abiteekawo olw’okwagala okunnyikizza obuweereza.

N’olwekyo tusaba Bboodi ezikulira ebitongole ne ba Ssenkulu okulaba nga buli mwaka empeereza eyongera okunyirizibwa.

Okwebaza Abateesiteesi Nneebaza abateesiteesi nga bano be ba Ssenkulu b’ebitongole nga bakulembeddwamu Omuk. Anthony Wamala.

OkuggalawoTukungaana bwe tuti ku nkomerero y’omwaka ne tuguggalirawo wamu anti era ffenna tuli mu buweereza bwa Ssaabasajja.

So ate nga 3/12/2022 twali mu mizannyo gya bitongole era nagyo egituyamba okwongera okumanyagana.

Tugaddewo Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka nga 16/12/2022, tujja kukomawo nga 3/1/2023. Kwaaya eziyimbye kubaddeko Cape Brothers, St. Stephen’s choir Lungujja, Uganda Martyr’s choir Katwe, neyabakozi b’ebitongole by’Obwakabaka.

Omukolo gwetabiddwako, Nnaalinnya Lubuga, Omumbejja Sarah Kagere, Omulangira Daudi Golooba, Omulangira David Kintu Wasajja, Omulangira Daudi Chwa, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, Oweek Noah Kiyimba, Oweek Christopher Bwanika, Oweek Mariam Mayanja Nkalubo, Oweek Hajji Amis Kakomo, ba Ssenkulu b’Ebitongole, bannaddiini, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda, n’abaweereza b’Obwakabaka ku mitendera egy’enjawulo.

www.creteblock.com
www.creteblock.com

Leave a comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.