
Omukolo gwakoleddwa Oweek. Joseph Kawuki, ku nkomerero ya wiiki ewedde. Yalayizza obukulembezze obuggya, obukulemberwa Brenda Nakimera eyazze mu bigere bya Kaddu Godfrey, n’abasaba okwogeza eddoboozi ery’omwanguka ku nsonga z’Obwakabaka; okwanganga abo abalumba Kabaka n’Obwakabaka; okuba abeesimbu; okutabaalira Kabaka mu nsi yonna ku nsonga ez’enjawulo; okwettanira obukulembeze obw’ensi, ssaako n’okusalawo okufumbiriganwanga mu ngeri entongole.

Omuyima w’ekibiina Charles John Ndawula yasabye abakulembeze okuyiga okukyusa obukulembeze mu mirembe oluvunnyuma lw’ebbanga eggere. Oweek. Rashid Lukwago, naye yabaddeyo era yasabye Bannankobazambogo okwewala okwekomomma mu mbeera zonna.

Abayizi bano baasoose kukola bulungibwansi era ne basimba ekibira, era nakyo Oweek. Kawuki yakitongozza; bazannye omupiira ekibiina kya Basoga Nseete; ate oluvannyuma ne batuula ku Kyoto, okwongera okubangulwa ku nsonga z’obuwangwa.
