
Omukolo ogwo gwali wamo mu Bulange, nga 8.10.1962, Duke of Kent yali akiikiride Queen Elizabeth II okutuukiriza Endagaano eyakolebwa nga 24.10.1961, eyateekebwako emikono nga 31.10.1961. Endagaano eyo yatandika okukola nga 1.11.1961. Y’ endagaano eyawa Buganda obwetwaze n’okuzza ebyo byonna Bungereza bye yali yatwala ku Buganda, era lwe yakomya edagaano zonna Bungereza ze yakola ne Buganda.
Olwo lwe lunaku nga 8.10.1962, Bungereza lwe yazza ettaka lya Buganda ery’e Mbuga zonna, ery’Obutaka, ne Mailo 9000 lye yali ekuumira Abazzukulu ba Buganda abataafuna Ttaka luli mu 1900. Gavumenti ya Uganda terina ttaka!”
