27 Mutunda, 2022
Obwakabaka bwa Buganda butegese olusirika lwa Bannaalinnya n’Abalangira abakulira emituba mu Lubiri lw’e Mengo, olwa leero, oluggudwawo Oweek. David Kyewalabye Male.
Mu kwogera kwe, Oweek. Male, asabye ab’Olulyo Olulangira okuba eky’okulabirako eri ebika ebirala, nga bakuuma ekitiibwa kya Kabaka; ekyabwe, ate n’ekya Nnamulondo, nga beewala ebikolwa ebibatyoboola.
Ye Ssaabalangira Godfrey Kikulwe Musanje, abasabye okukuuma ebyama byabwe n’okwewala enjawukana basigaze ekitiibwa ng’Olulyo Olulangira.












