MAAMA NNAABAGEREKA YAGADDEWO EKISAAKAATE DIASPORA 2022.



Maama Nnaabagereka, Sylvia Nagginda, aggaddewo Ekisaakaate kya Nabagereka Diaspora, ekibadde kiyindira ku Singing Hills Christian Camp, e New Hampshire, mu Amerika.

Bw’abadde aggalawo Ekisaakaate kino, Nnaabagereka akubirizza abazadde okukuliza abaana mu buntubulamu basobole okuba ab’omugaso mu nsi, ate n’okufuba ennyo okubayigiriza olulimi lwabwe newankubadde nga babeera bunaayira.

Enteekateeka eno emaze wiiki emu yeetabiddwamu abasaakaate 93 ababanguddwa ku misomo egy’enjawulo.

http://www.royaleproperty.co.ug
http://www.royaleproperty.co.ug



MAAMA NNAABAGEREKA ALI MU AMERIKA KU NTEEKATEEKA Y’EKISAAKAATE KYA NABAGEREKA DIASPORA.



Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, ali mu Amerika gye yagenda mu nteekateeka z’Ekisaakaate kya Nabagereka Diaspora.

Nnaabagereka ali mu kibuga Boston mu Ssaza ly’e Massachusetts, gye yayanirizibwa Omwami wa Kabaka mu kitundu ekyo Oweek. Kato Kajubi n’Abaganda awamu ne mikwano gyabwe.



Ku mukolo ogw’okumwaniriza, Nnaabagereka yannyonnyola abantu okwolesebwa kw’Ekisaakaate era n’abasaba okutwala abaana baabwe bagunjulwe.

Olunaku lwa ggyo, Maama Nnaabagereka yakyaziddwa munnamikago wa Nabagereka Development Foundation, Omw. Ernie Boch, ku kijjulo n’ekigendererwa eky’okuvuba bannamikago abalala okwongera okuwagira enteekateeka za Nnabagereka Development Foundation.

Nnaabagereka yeebazizza nnyo Mw. Boch olw’enteekateeka ate n’olwobuwagizi eri emirimu gya NDF n’obuvujjirizi obulala bw’akoze mu Uganda.

Yagambye kikulu nnyo okunyweza engunjula y’abaana mu mpisa nga tweyambisa obuwangwa n’omulembe oguliko, kiyambeko okutaasa ebikolobero ebikolebwa ensangi zino, n’awa eky’okulabirako eky’abaana abattisa banaabwe emmundu mu masomero eyo mu Amerika.

Yagambye nti tusobolera ddala okweyambisa obuwangwa bwaffe ne tuzimba abakulembeze abalungi mu nsi.

Nnaabagereka era yabanjulidde enteekateeka ya Nnaabagereka Nagginda Women’s Fund, gye yatandikawo omwaka guno okunoonya obuvujjirizi bw’ebitongole ebiyamba abakyala n’abaana.

Yasabye bannamikago okuvaayo bawagire enteekateeka eno ereeteddwa okuyamba abakyala.

Nnaabagereka yawerekerwako Omumbejja Saangalyambogo n’abaweereza mu Nabagereka Development Foundation.

1 thought on “MAAMA NNAABAGEREKA YAGADDEWO EKISAAKAATE DIASPORA 2022.

Leave a comment

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.