ABAYISIRAMU BAKUNGANIDDE KU MUZIKITI E KIBULI OKUJJUKIRA EMYAKA 130 EGY’AMADDA G’OMULANGIRA NUHU MBOGO ERA WANO WABADDEWO N’OKUTONGOZA EKITABO EKITUUMIDDWA ‘MBOGO YALI NGABO’

 

Omulangira Dr. Kassim Nakibinge agamba nti ebingi eby’okujaguza n’okujjukira ku Mulangira naddala engeri gye yategeeramu Allah we n’akola nnyo okunyweza Obusiraamu mu Uganda. Ategeezezza nti ono ayigirwako okwesonyiwa entalo, era obukulembeze bw’e Kibuli bwesonyiwa entalo zonna ne basalawo kukola ebyo bye bakkiriza nti bye bituufu era ebikulaakulanya Obusiraamu.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase naye asinzidde eno n’ategeeza nti Omulangira Mbogo lwali lujegere lwa maanyi olwayunga Obwakabaka bwa Buganda ku buyisiraamu, ng’ono newankubadde yakubirizza nnyo abantu okubeera obumu ate n’okwagala obuwangwa bwabwe. Ayongeddeko nti ono yakola nnyo mu kusomesa abantu obusiraamu y’alwanirirwa nnyo obulombolombo bw’abasiraamu obutasaanawo.

Omulangira Nuhu Mbogo Kyabasinga ajjukirwa nnyo okutandikawo omuzikiti gw’e Kibuli, okukubiriza abasiraamu mu Uganda okwambala entalabuusi, okuwaliriza Gavumenti okuyisa akawayiro k’Abasiramu okuba nti be basala ebisolo n’ensonga endala.